OBUBAKA BWA KAGGO MUKUGGULAWO EDDWALIRO LYA PEOPLES MEDICAL HOSPITAL GAYAZA

Nga tuggulawo eddwaliro lya People’s Medical Hospital Gayaza leero nga 26/2/2026, Nga Essaza Kyaddondo tulina essanyu lya nsusso okulaba nga omulimu guno gutuuse kunkomerero yagwo. Twebaza Katonda olw’okworesebwa kweyawa omutandisi walyo Dr. Frank Ndugga nga ono muweereza wa Ssaabasajja Kabaka atwala Ekitongole ky’eby `obulamu mu Ssaza Kyaddondo. Tukwebaza olw’obukozzi awamu n’okweewaayo okulaba nga wetwogerera bino, eddwaliro lino mu butongole litandise okuwa abantu ba Ssaabasajja obujjanjabi obw’enjawulo.Twebaza nnyo People’s Medical Hospital Gayaza olw’obujjanjabi bwemuwa abantu ba nyinimu naddala okukola ensiisira z’ebyobulamu okwetoolora Essaza K.yaddondo gattako okujjanjaba ttiimu yaffe ey’Essaza ey’omupiira K yaddondo FC kubwereere n’emirimu emirala minji. Tubaagariza obuweereza obulungi mu lugendo lwe mutandise leero mu butongole nga Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga agguddewo eddwaliro lyaffe lino, Katonda abakuume ,
Awangaale Ssaabasajja Kabaka
 Ahmed Magandazi Matovu.
Kaggo.