Ebyobulamu gwe musingi okuzimbibwa enkulaakulana y’eggwanga. Abantu abalamu ky’eky`obugagga ekisinga eri eggwanga lyonna.
Tujaguza n’essanyu lingi olw`okuggulawo eddwaliro lino “People’s Medical Hospital”. Eddwaliro lino liwa essuubi ddene mu nsonga z`ebyobulamu mu bantu b’e Ggayaaza n’ebitundu ebibeetoolodde. Eddwaliro lino liteekeddwamu ebikozesebwa eby’amaanyi Kino kiraga nti abatandisi beewaddeyo okulituusa ku mutindo ogusaanidde Twebaza abatandisi wamu n’olukiko oluddukanya eddwaliro lino olw’okusiga ensimbi mu nsonga ekwatira ddala ku bulamu bw’abantu, Tusaba Katonda ayongere okuwa abantu obuvumu mu kusiga ensimbi mu byobulamu.
Nneebaza abasawo abasazeewo okweyambisa obukugu bwabwe, okuwaayo obudde n’okuyitibwa kwabwe okuweereza abantu nga bakolera mu ddwaliro lino. Nga muweereza, tubasaba okusoosowaza amateeka g`obusawo, empisa n`ekitiibwa ky`obulamu. Nsaba Mukama abasobozese okuweereza abalwadde, n’abayinike. Twebaza ekitongole ky`ebyobulamu mu Gavumenti eya wakati olw`obuwabuzi n`obuwagizi mu ngeri yonna okuviira ddala mu kuyisa enteekateeka n’okulambula emirimu egikolebwa okutuuka mu kuwa olukusa Omulimu ogukoleddwa gwa nkizo mu kukakasa nti obuweereza obuweebwa buli ku mutindo, bufunika ate era butuukikako.
Eddwaliro lino liyambako nnyo Gavumenti ya wakati mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bw`erina mu byobulamu bw’abantu era tusaba enkolagana eno wakati w’amalwaliro ga Gavumenti ag’obwannannyini egende P mu maaso ku lw`obulungi bw’abantu, Obwakabaka
Minisitule y’Enkulaakulana y`Abantu, bweyama okuwagira eddwaliro lino, Emikago giyambye nnyo Obwakabaka mu kutumbula ebyobulamu nga buyita mu kusomesa abantu engeri gye bayinza okwetangira endwadde. Mu kkowe eryo, twaniriza n’essanyu lingi eddwaliro lino mu nteekateeka zaffe ez’okutuusa ensonga z’ebyobulamu mu maka gaffe, ne mu bitundu gye tubeera, Nkubiriza Bannaggayaaza n’ab’ebitundu ebyetooloddewo okwagala eddwaliro lyammwe, era n`okulyettanira. Mugeme endwadde, mwerabirire bulungi era mwebuuzenga ku basawo abatendeke Mujjukire ebyobulamu bitandikira waka, ne bitereezebwa mu ddwaliro, Awo nno *mulinnyise omutindo” mu byobulamu.
Njozaayoza mwenna abalaafubanye okuzimba eddwaliro lino.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale……nga n’Enkumbi ku Bbega!
Charles Peter Mayiga
KATIKKIRO.

